Buganda Lwazi, Alwekonako Y'agwa

Call Directions

Buganda Lwazi, Alwekonako Y'agwa Wano, tukulembeza ensonga za Buganda Ssemasonga, Naddala esooka ey'okukuuma n'okutaasa Namulondo

29/08/2026

RUBONGOYA YAZEEMU OKUKUNGAANYA AKABINJA KE K'ASASULA OKUVOOLA OBWAKABAKA, ERA BAABAKANYE DDA N'OMULIMU GWABWE OGW'OKUKOLA PROPAGANDA KU BWAKABAKA NGA BWEBAAKOLA MU 2021. ERA MWE NGA TEMUBUUKA NTI BANO BAKOZI BA M7!

29/08/2026

Zambaali Bulasio Mukasa ne Sserunkuuma John Bosco Mu Nansana Municipality, Division ye Busukuma, mu Kabubbu, okumpi ne Kakungulu High School, mulimu omutuuze wammwe, Namwandu era Jajja w'abaana, neighbor we omugagga gw'ali mu kugobaganya ku kibanja kye kw'awangaalira.

Ekibanja kye omugagga yakiwamba, talina w'alimira, Tooyi yagisibira mu ssengenge gweyateekawo, n'akayumba mw'akuliza bazzukulu be kasulirira kukoonebwa. Amalaalo ga bbawe nago gali omwo, saawa yonna gasendebwa. Okusitukiramu kwammwe okwanika embeera eno kuyinza okuyambako kinene okutaasa omukadde ono.

Omwana wa Muteesa awezezza emyaka 33 ku Namulondo. Yogaayoga Ssemunywa.
31/07/2026

Omwana wa Muteesa awezezza emyaka 33 ku Namulondo. Yogaayoga Ssemunywa.

Tuli mu keeterekerero ka matikkira ga Ssabasajja ag'emyaka 33. Yogaayoga ayi empalabwa.
27/07/2026

Tuli mu keeterekerero ka matikkira ga Ssabasajja ag'emyaka 33. Yogaayoga ayi empalabwa.

19/09/2025

Obubaka bwa Ssabataka mu lukiiko lw'abataka abakulu ab'obusolya.

02/09/2025

SEPTEMBER MU LUGANDA AYITIBWA MUTUNDA.
Lino erinnya (Mutunda) lisibuka ku Nswa eziyitibwa ENTUNDA ezibuuka ennyo mu kiseera kino.

OMUGANDA N'ENSWA

● Edda ennyo Enswa nga zitwaalibwa ku buko neziweebwaayo ng'omutwalo gw'abakadde b'omuwala!
● Enswa zaalibwanga ng'enva.
● Mu kufumbya omugole, Enswa n'obutiko nga tebibula ku bintu omugole by'atwala okufumbira bba.
● Enswa zaasoloozebwanga ng'omusolo. ( Musolo gwa nswa, osolooza bw'olyako)
● Edda baaziwanga abagenyi ng'emmwanyi ne bazinywera ku mwenge oba ku caayi.
● Enkyana ky'enswa kiyitibwa Entakke
● Engazamba y'enswa etaliiko byoya
● Jalabwe ye lubaale w'enswa.
● Eriiso ly'enswa ensejjere liyitibwa Olwataata
● Jjukira tulina ebika by'enswa bino
▪Entunda
▪Empawu
▪Embaala
▪Ennaka
▪Ensejjere
▪Embobya
MBAGAALIZA MUTUNDA OMULUNGI.

01/09/2025

E Dubai tuli mu ketalo ka kwaniriza Kamalabyonna wa Buganda Katikkiro Charles Peter Mayiga.

MAAMA NABAGEREKA MUKYALA MUSABI NYO.Wano Nabagereka wa Buganda Maama Sylvia Nagginda yabadde Lugogo Chricket Oval, mu ki...
29/08/2025

MAAMA NABAGEREKA MUKYALA MUSABI NYO.

Wano Nabagereka wa Buganda Maama Sylvia Nagginda yabadde Lugogo Chricket Oval, mu kivvulu ky'okusaba n'okusinza eky'omuyimbi wa gospel Nakinku mu nsi yonna Cece Winnans.

Maama, tusaba Omukama Katonda awulirenga esaala zo.

Ayi Ssabasajja Kabaka,  webale kutulamula n'obuvumu, n'obumalirivu, n'obugunjufu, kyokka nga byonna obikola n'omukwano o...
31/07/2025

Ayi Ssabasajja Kabaka, webale kutulamula n'obuvumu, n'obumalirivu, n'obugunjufu, kyokka nga byonna obikola n'omukwano omuyitirivu eri abantu bo. Twebaza omutonzi akuwaniridde mu byonna, era tumusaba owangaale nyo nyo nyo n'okusinga Jajjawo Ttembo.

Wangaala nyo Ssebuufu bwa Ngo.

30/07/2025

OLUNAKU LW'ENKYA, SSABASAJJA KABAKA AWEZA EMYAKA 32 NG'ATUDDE KU NAMULONDO YA BA JAJJA BE ALAMULA OBUGANDA.

Address

Kampala

Telephone

+971566844728

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Buganda Lwazi, Alwekonako Y'agwa posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Shortcuts

Share

Category